Monday, 28 December 2009


Tanzania community End of year Party

This is Club Afrique Security team(FFU) Barking Road Canning Town






EBIKA BYA BAGANDA E BUNGEREZAAKABAGA K'ABAVUBUKA AB'EMYAKA 18 - 29. NGA 31.12.09Ssebo / Nnyabo,Emirundi mingi abazadde n'abavubuka baffe bagamba nti abavubuka baffe bangi tebafuna mukisa kusisinkana na kusanyukakirako wamu. Ebivaamu ffena ndowooza tubimanyi. Obuvunaanyizibwa bwaffe nga abazadde okuteekerateekera abavubuka tubusudde muguluka?Ebika Bya Baganda E Bungereza byagala okukolera wamu naawe okusalira ensonga eno amagezi. Bwe tutakyekolerako, tewali ajja kukitukolera era tujja kusigala nga twekubagiza sinakindi kutunula bbali twefuule abatalumwa naye nga munda abasinga kitwetakuza emitwe.Ensisinkano emu teyinza kutunogera ddagala. Tuteekateeka okuba n'ensisinkano z'abavubuka nga zino enfunda eziwera mu mwaka. Mujjukire nti "N'aganaafa, bagasalira essubi." Tugezeeko, osanga tunaabaako ne kye tutaakiriza.N'olw'ensonga ezo waggulu, bw'oba olina abavubuka abagwa mu myaka 18 - 29 oba banno b'omanyi ababalina, osabibwa okubatuusaako ebbaluwa eno n'emperekeze (attachment ) eriko.Akabaga kano tekajja kubeera ka kwogera ku kintu kyonna. Ka bavubuka kusisinkana banyeenye ku galiba enjole.
AKABAGA K'ABAVUBUKA
EMYAKA:
18 - 29
OLUNAKU: Thursday December 31 December
ESSAAWA: 9pm - 3amEKIFO: Waterloo Action Centre, 14 Bayliss Road, Waterloo, London, SE1 7AAOKUTUUKAWO: Eddakiika 2 okuva ku Waterloo Train Station ku Waterloo Road, dda ku ddyo otuuke ku bitaala era odde ku ddyo.OKUYINGIRA: £10 buli muntu.Okumanya ebisingawo, kubira Fred Ssemugera ku 07956 455 133 0ba 0208 428 9553 ne semugeraf@aol.co.uk
OSABIBWA OKUWEEREZAAKO BANNO.Olw'okuba enguudo ezisinga mu makkati ga London ziba nsibe okutuusa nga emikolo gy'ebiriroriro ( fireworks ) giwedde, abanaaba tebakozesezza Waterloo Train Station bayinza kusimba ku nguudo eziva ku Blackfriars Road ne batambulawo eddakiika nga ttaano.Weebale nnyo.Fred Ssemugera.Ssentebe, Ebika Bya Baganda E Bungereza.26.12.09